2 Thessalonians 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumanyi mmwe mwennyini bwe muteekwa okulabira ku ffe; ffe bwe twali eyo ewammwe, tetwalenderanga bulendezi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mmwe bennyini mumanyi bulungi bwe kibagwanira okutugobereranga ng’ekyokulabirako kyammwe, kubanga temwatulaba nga twegomba okulya ebyo bye tutakoleredde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga, kubanga tetwali bagayaavu bwe twali nammwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti musaanidde okukola nga ffe bwe twakolanga. Bwe twali nammwe, tetwali bagayaavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga: kubanga tetwalemwa kutambula bulungi mu mmwe;