2 Thessalonians 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tewali we twalyanga mmere ku bwereere; wabula twakolanga ne tutegana ekiro n'emisana tuleme kubaako gwe tukaluubiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tetwakkiriza kulya mmere ya muntu yenna awatali kumusasula. Twafubanga nnyo ne tukoowa nga tukola emirimu emisana n’ekiro tulyoke tufunemu bye twetaaga okukozesa, era tuleme kuzitoowerera muntu n’omu ku mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n'okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetwalyanga mmere ya bwereere, wabula twakolanga nnyo, nga tufuba emisana n'ekiro, tuleme okukaluubirira wadde omu ku mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n’okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe: