2 Thessalonians 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si kubanga twali tetusaanidde mpeera, naye twayagala kubawa kyakulabirako nammwe mukole nga ffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si kubanga tetwalina buyinza okubagamba mmwe okutuliisa, naye twayagala mutulabireko nga bwe kibagwanidde okukolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'eky'okulabirako mulyoke mutugobererenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetugamba nti tekyanditugwanidde, wabula twayagala kubawa kyakulabirako, namwe mukolenga nga ffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'ekyokulabirako mulyoke mutugobererenga.