2 Timothy 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyenva mbonyaabonyezebwa bino byonna, naye sikwatibwa nsonyi kubanga gwe nakkiriza mmumanyi, era ndi mumativu nti asobola okunkuumira bye namukwasa okutuusa ku lunaku olwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kyenva mbonaabona bwe ntyo, naye sikwatibwa nsonyi; kubanga mmanyi gwe nnakkiriza, ne ntegeerera ddala ng'ayinza okukuumanga kye nnamuteresa okutuusa ku lunaku luli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa, okutuusa ku lunaku luli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kyenva mbonaabona bwe ntyo: naye sikwatibwa nsonyi; kubanga mmanyi gwe nnakkiriza, ne ntegeerera ddala ng'ayinza okukuumanga kye nnamuteresa okutuusa ku lunaku luli.