2 Timothy 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nywerera ku bigambo ebituufu bye wawulira okuva mu nze; bitwale ng'ekyokulabirako, osigale mu kukkiriza ne mu kwagala ebiri mu Kristu Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nywezanga ekyokulabirako eky'ebigambo eby'obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kukkiriza ne mu kwagala okuli mu Kristo Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gobereranga ebigambo eby'amazima bye wawulira njogera, era nywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala, bye tulina nga tuli mu Kristo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nywezanga ekyokulabirako eky'ebigambo eby'obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kukkiriza ne mu kwagala okuli mu Kristo Yesu.