2 Timothy 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama abeere wa kisa eri amaka ga Onesiforo, kubanga ambeeredde kikubagizo bulijjo era takwatirwanga njegere zange nsonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akwatirwe ekisa ab’omu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama waffe asaasire ennyumba ya Onesifolo, kubanga yampummuzanga emirundi mingi, so teyakwatirwa nsonyi lujegere lwange,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama akwatirwe ekisa ab'omu maka ga Onesiforo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi, era teyakwatibwa nsonyi olw'okubanga ndi musibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama waffe asaasire ennyumba ya Onesifolo: kubanga yampummuzanga emirundi mingi, so teyakwatirwa nsonyi lujegere lwange,