2 Timothy 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ya Timotewo, mutabani omwagalwa: eneema, okusaasira n'eddembe okuva ewa Katonda Taata ne Kristu Yezu Mukama waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa n’okusaasirwa, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri Timoseewo, omwana wange omwagalwa; ekisa, okusaasira, n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mpandiikira ggwe omwana wange omwagalwa Timoteewo. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eri Timoseewo, omwana wange omwagalwa: ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe bituuke gy'oli.