2 Timothy 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neebaza Katonda, oyo gwe mpeereza n'emmeeme entereevu nga bajjajjange bwe baakola, bwe nkujjukira obutasalako mu ssaala zange emisana n'ekiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nneebaza Katonda gw'empeereza mu mwoyo omulungi, era nga bajjajjange bwe baakola, bwe nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi, nga bajjajjange bwe baakola. Bulijjo mmwebaza bwe nkujjukira nga mmwegayirira emisana n'ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nneebaza Katonda gwe mpeereza okuva ku bajjajjange mu mwoyo omulungi, bwe nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n'ekiro