2 Timothy 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzijukira n'okukkiriza kwo okwesimbu, okwo okwasookera mu jjajjaawo Loyi ne mu nnyoko Ewunisi, ate kati kwe nkakasa nti ne mu ggwe mwekuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nzijukizibwa okukkiriza kwo okutaliimu bukuusa, okukkiriza okwabeeranga olubereberye mu jjajjaawo Looyi ne mu nnyoko Ewuniike, era ntegeeredde ddala nga kuli ne mu ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nzijukira okukkiriza kwo okw'amazima, era ne jjajjaawo Looyi ne nnyoko Ewuniike kwe baalina, era kaakati nkakasa nti naawe okulina,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe nnajjukizibwa okukkiriza okutali kwa bukuusa okuli mu ggwe; okwabeeranga olubereberye mu jjajjaawo Looyi ne mu nnyoko Ewuniike, era ntegeeredde ddala nga kuli ne mu ggwe.