2 Timothy 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno tokwatirwanga nsonyi kujulira Mukama oba nze omusibe we, wabula gabana ku bizibu olw'okubeera Evangili okusinziira ku maanyi ga Katonda
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olw’Enjiri ng’oyambibwa amaanyi ga Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we, naye obonyaabonyezebwanga wamu n'Enjiri ng'amaanyi ga Katonda bwe gali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo tokwatibwanga nsonyi okwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we; wabula naawe bonaabona olw'Amawulire Amalungi, ng'oyambibwa amaanyi ga Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we: naye obonyaabonyezebwanga wamu n'enjiri ng'amaanyi ga Katonda bwe gali;