2 Timothy 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eyatulokola, n'atuyita mu kuyitibwa okutukuvu, si lwa kubeera bikolwa byaffe ku bwaffe, wabula olw'okubeera entegeka ye n'eneema ye. Eneema eno yatuweebwa dda mu Kristu Yezu, ng'obudde tebunnabaawo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyatulokola n'atuyita okuyita okutukuvu, si ng'ebikolwa byaffe bwe biri, wabula okumalirira kwe ye n'ekisa bwe biri, kye twaweerwa mu Kristo Yesu emirembe n'emirembe nga teginnabaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyatulokola, n'atuyita tube ababe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku ebyo bye twakola, wabula ng'asinziira ku kuteesa kwe ne ku kisa kye, kye yatukwatirwa ng'ayita mu Yesu Kristo okuva edda n'edda lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyatulokola n'atuyita okuyita okutukuvu, si ng'ebikolwa byaffe bwe biri, wabula okumalirira kwe ye n'ekisa bwe biri, kye twaweerwa mu Kristo Yesu emirembe n'emirembe nga teginnabaawo,