2 Timothy 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo ŋŋumira buli kimu olw'okubeera abalondemu, nabo bafune okulokoka okuli mu Kristu Yezu era n'ekitiibwa eky'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenva ngumira ebintu byonna olw’abalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, n’ekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune okulokoka okuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenva ŋŋumira byonna olw'abalondemu ba Katonda, balyoke bafune okulokolebwa, n'ekitiibwa ekitaggwaawo, ebiri mu Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune obulokovu obuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo.