2 Timothy 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka gwo omusingi omugumu ogwa Katonda gukyanywedde; guliko akabonero kano nti: “Omukama amanyi ababe,” era nti: “Buli omu akoowoola erinnya ly'Omukama yeewale obugwenyufu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti, “Mukama waffe amanyi ababe,” era nti, “Buli ayatula erinnya lya Mukama, yeewalenga obutali butuukirivu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era guliko akabonero, bye bigambo ebigamba nti: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama, ave mu bibi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti Mukama waffe amanyi ababe: era nti Yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula erinnya lya Mukama waffe.

Recommended Reading