2 Timothy 2:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa oli yeetukuzaako ebitali bya kitiibwa, aba kibya eky'ekitiibwa, ekitukuziddwa, ekitegekeddwa okweyambisibwa nnannyinimu, ekisaanira buli mulimu omulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga, ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli eyeewala ebibi ebyo byonna, ye anaabanga ekintu ekyekitiibwa, ekitukuziddwa, ekisaanira buli mulimu omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi.
Recommended Reading