2 Timothy 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno vva mu kwegomba okw'ekivubuka, weefubirire obutuukirivu, okukkiriza, okwagala n'eddembe, wamu n'abo abakowoola Omukama n'omutima omutukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga, naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe, awamu n'abo abasaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo weewalenga okwegomba okubi okw'ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, okukkiriza, okwagalana era n'emirembe, ng'oli wamu n'abo abeegayirira Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe awamu n'abo abamusaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu.