2 Timothy 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutabaazi, bw'aba ku lutabaalo, ate teyeeyingiza mu mitawaana gya bulamu bwa bulijjo, asobole okusanyusa oyo eyamuwandiisa mu butabaazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali muserikale ng’ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gy’abantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika okuba omulwanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali muserikale ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana egy'abantu abaabulijjo, kubanga ekiba kimuli ku mutima, kwe kusanyusa oyo eyamuwandiika okuba omuserikale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Siwali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi.