2 Timothy 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe ogoberedde enjigiriza yange, enneeyisa, ekigendererwa, okukkiriza, obugumiikiriza, okwagala, okuguma,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe wagoberera okuyigiriza kwange, n'empisa zange, ne kye nduubirira. Era wagoberera okukkiriza kwange, n'okwagala kwange. Era omanyi nga bwe nagumira
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye gwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange,