2 Timothy 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okuyigganyizibwa, okubonaabona, nga bwe byantuukako mu Antiyokiya, Yikoniyo ne Lisitura; ebyo bye bibonoobono bye nagumira. Kyokka Omukama yamponya mu bino byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuyigganyizibwa kwange, n'okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, ne mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali, era Mukama waffe yandokola mu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuyigganyizibwa n'okubonyaabonyezebwa, ebyantuukako mu Antiyookiya, mu Yikoniyo ne mu Lisitura. Ddala nayigganyizibwa nnyo! Kyokka Mukama yamponya mu byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuyigganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali: era Mukama waffe yandokola mu byonna.