2 Timothy 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abantu ababi n'abalimba balyeyongera bubi, nga balimba nabo nga bwe balimbibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu kukola obubi, nga balimba era nga balimbibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu ababi, n'abalimba balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babuzibwabuzibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.