2 Timothy 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era ng'okuva mu buto omanyi Ebiwandiiko Ebitukuvu, ebisobola okukuwa amagezi ag'okulokoka okuva mu kukkiriza Kristu Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu kulokoka olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva mu buto bwo, wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza, n'olokolebwa olw'okukkiriza Kristo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.