2 Timothy 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiwandiiko byonna ebitukuvu byafuuyirirwa Katonda, era bigasa mu kuyigiriza, mu kusimba ensonga, mu kugolola, ne mu kutendeka mu butuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyawandiikibwa byonna ebitukuvu birina okuluŋŋamya kwa Katonda era bigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyawandiikibwa byonna Ebitukuvu, Katonda ye yabiruŋŋamya, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya, ne mu kugunjula omuntu akolenga ebituufu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;