2 Timothy 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu baliba beefaako bokka, baagazi ba ssente, beepansi, ba lunkulu, bavuma, tebawulira bazadde baabwe, ntasiima, omutali butuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, si batuukirivu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ebyokufuna, nga beenyumiriza, nga beepanka, nga bavvoola, era nga tebawulira babazaala. Baliba tebeebaza, nga tebafa ku bya Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu,