2 Timothy 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga beeyisa ng'abasomi, sso ng'eddiini tebakkiriza maanyi gaayo. Abo beesambire ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo, abantu bwe batyo obakubanga amabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga kungulu balabika ng'abassaamu eddiini ekitiibwa, sso nga tebakkiriza maanyi gaayo. Abantu abo beewalenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega.