2 Timothy 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu ku bano basensera amayumba ne bakwasa abakazikazi, abeebinise ebibi, abatwalibwa amaddu aga buli ngeri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu abo mulimu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu abo mulimu abasensera mu mayumba, ne bawamba abakazi abasirusiru, abajjudde ebibi, era abatwalibwa okwegomba okubi okwa buli ngeri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku abo be bantu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu,