2 Timothy 4:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkukuutirira ddala mu maaso ga Katonda n'aga Kristu Yezu aliramula abalamu n'abafu ku lunaku lw'okulabika kwe n'olw'obwakabaka bwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira abalamu n'abafu omusango, era nkukuutira olw'okujja kwe, n'olw'Obwakabaka bwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe;