2 Timothy 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nali neewozaako ogwasooka, tewali yajja kumpolereza; buli omu yanjabulira. Kale, kino kireme kubavunaanibwa!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kuwoza kwange okw'olubereberye tewali yannyamba, naye bonna banjabulira, nsaba baleme okukibalirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kuwoza kwange okwasooka, tewali n'omu yannyamba, bonna banjabulira. Nsaba Katonda, ekyo kireme kubavunaanibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kuwoza kwange okw'olubereberye siwali eyannyamba, naye bonna banjabulira: nsaba baleme okukibalirwa.