2 Timothy 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama yali nange, n'ampa amaanyi, okulangirira Evangili kutuuke ku bujjuvu nga kuyita mu nze, ab'amawanga bonna bagiwulire. Ne mponyezebwa bwe ntyo mu kamwa k'empologoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n'ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire, bwentyo ne ndokoka mu kamwa k'empologoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama yabeera nange, n'ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala ab'amawanga amalala bonna ekigambo kya Katonda, ne bakiwulira, bw'atyo n'anzigya mu kamwa k'empologoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n’ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire: ne ndokoka mu kamwa k'empologoma.