2 Timothy 4:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alimponya buli kabi konna n'antuusa mirembe mu bwakabaka bwe obw'omu ggulu. Oyo aweebwe ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama waffe anaamponyanga mu buli kikolwa ekibi, era anandokolanga olw'obwakabaka bwe obw'omu ggulu, aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu Bwakabaka bwe obw'omu ggulu. Mukama oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama waffe anandokolanga mu buli kikolwa ekibi, era anankuumanga okutuusa ku bwakabaka bwe obw'omu ggulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.