2 Timothy 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
langirira ekigambo, kinyiikirire we kisanyusiza ne we kitasanyusiza, nnyonnyola, komako, gumya wabula ng'oyigiriza n'obugumiikiriza bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n'eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
tegeezanga abantu ekigambo kya Katonda, ng'onyiikira okuyigirizanga mu biseera ebirungi n'ebitali birungi. Nenyanga, kangavvulanga, era buuliriranga abantu, ng'oli mugumiikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza.