2 Timothy 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga akadde kalijja abantu nga tebakyagumiikiriza njigiriza nnamu, wabula, olw'ebyo bo bye baagala, balyetuumira abayigiriza aboogera ebisanyusa amatu gaabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kijja, abantu lwe baligaana okuwulira enjigiriza ey'amazima, era olw'okugoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, ababayigiriza ebyo bye baagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli;