2 Timothy 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe ba mukalangufu obudde bwonna, gumiikiriza ebizibu, kola ogw'okuyigiriza Evangili, tuukiriza obuweereza bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'Enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe beeranga mwetegefu bulijjo, gumiranga okubonyaabonyezebwa, okolenga omulimu ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, otuukirize omulimu gwe waweebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.