2 Timothy 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nze ka ŋŋambe nti naweebwayo dda ng'ekitone eky'okuyiwa, n'akadde kange katuuse nsitule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze kaakano nsemberedde okufa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ndi kumpi okutambirwa. Ekiseera kyange eky'okuva ku nsi kituuse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze kaakano nfukibwa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse.