2 Timothy 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'okuva kati engule ey'obutuukirivu entegekeddwa, eyo Omukama, omulamuzi omwenkanya, gy'alimpa ku lunaku olwo, ate si nze nzekka, naye n'abo bonna abaagadde okulabika kwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano ekisigaddeyo, engule enterekeddwa ey'obutuukirivu, Mukama waffe gy'alimpeera ku Lunaku luli, asala emisango egy'ensonga, so si nze nzekka, naye era ne bonna abaagala okulabika kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye nsigazza kwe kufuna engule ey'obutuukirivu, Mukama omulamuzi omwenkanya gy'alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n'abo bonna, abeegomba okujja kwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey'obutuukirivu Mukama waffe gy'alimpeera ku lunaku luli, asala emisango egy'ensonga: so si nze nzekka naye era ne bonna abaagala okulabika kwe.