3 John 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo bwe ndijja, ndimujjukiza ebikolwa bye by'akola ng'amala gatwogerako bigambo bibi. Ekyo olw'obutamumalira, n'abooluganda tabaaniriza, ate n'aziyiza n'abo abandyagadde okubaaniriza, n'abagoba mu Ekleziya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'atwogerako ebigambo ebibi ebitaliimu. So n'ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba ne mu kkanisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndijja kyendiva mmuvunaana olw'ebikolwa bye by'akola, ng'atwogerako ebigambo ebibi. Era ebyo tebimumala, wabula abooluganda ye yennyini tabaaniriza; ate n'abo abaagala okubaaniriza abaziyiza, n'abagoba ne mu kibiina ky'abakkiriza Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu: so ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba mu kkanisa.