3 John 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwagalwa, togoberera kibi, wabula ekirungi; akola obulungi, oyo aba wa Katonda; akola obubi aba tannalaba Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi, akola obulungi ye wa Katonda, akola obubi nga talabanga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula gobereranga ekirungi. Akola ekirungi, oyo aba wa Katonda. Akola ekibi, oyo aba talabanga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi. Akola obulungi ye wa Katonda: akola obubi nga talabanga Katonda.