3 John 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Demeturiyo ayogerwako bulungi mu bonna, ko n'amazima gamukakasa; naffe ffennyini tumwogerako bulungi, ate omanyi ng'okukakasa kwaffe kwa mazima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini gaakikakasa, era naffe tukitegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Demetiriyo bonna bamwogerako bulungi, era kye boogera kya mazima. Era naffe tumwogerako bulungi, ate omanyi nga ffe kye twogera kiba kya mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini: era naffe tutegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima.