3 John 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti nsuubira okukulaba amangu; tulibyogerako maaso ku maaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nsuubira okukulaba amangu, era tulyogera akamwa n'akamwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsuubira okukulaba amangu, olwo tulyogeranya akamwa n'akamwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nsuubira okukulaba amangu, tulyogera akamwa n'akamwa. Emirembe gibenga gy'oli. Ab'omukwano bakulamusizza. Lamusa ab'omukwano ng'amannya gaabwe bwe gali.