3 John 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo boogedde bulungi ku kwagala kwo kw'olina eri Ekleziya. Bw'onoobasibirira mu lugendo lwabwe nga bwe kigwanira omulimu gwa Katonda, onooba okoze bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaategeeza okwagala kw'omu maaso g'ekkanisa. Onooba okoze bulungi bw'onoobatuma okweyongerayo mu lugendo lwabwe nga bwe kisaanira obuweereza bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo baategeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ku kwagala kwo. Onooba okoze bulungi okubakulembera ne batambula nga basaanidde Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaategeeza okwagala kwo mu maaso g'ekkanisa; abo bw'onoobatambuzanga nga Katonda bw'asaanira, onookolanga bulungi: