Acts 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bakyatunuulidde waggulu nga bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru ne bayimirira kumpi nabo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw'agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baali nga batunuulira waggulu balabe bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru, ne bajja ne bayimirira kumpi nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw'agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula;