Acts 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baayingira, ne bambuka mu kisenge ekya waggulu mwe baabeeranga: Petero ne Yowanna ne Yakobo, ne Andureya, Filippo ne Tomasi, Barutolomaawo ne Matayo, Yakobo owa Alufayo ne Simoni Omutakabanyi, ne Yuda mutabani wa Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano: Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya, ne Firipo ne Tomasi, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote ”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu, we baakuŋŋaaniranga, baali: Peetero, Yokaana, Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, Simooni omuzerote, ne Yuda omwana wa Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baayingira mu kibuga, ne bambuka mu kisenge ekya waggulu kye baabeerangamu. Baali: Peetero ne Yowanne, ne Yakobo ne Andereya, Filipo ne Tomasi, Barutolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, Simooni Omulwanirizi w'eddembe ly'eggwanga lye, ne Yuda muganda wa Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu, we baatuulanga; Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Simooni Zerote, ne Yuda omwana wa Yakobo.