Acts 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Basajja baganda bange, ekyawandiikibwa, Mwoyo Mutuukirivu kye yalanga ng'ayita mu Dawudi, ku Yuda eyakulembera abo abaakwata Yezu, kyali kiteekwa okutuukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ab'oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda ng'ayita mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abooluganda, ekyawandiikibwa, Mwoyo Mutuukirivu kye yayogeza Dawudi ku Yuda eyakulembera abo abaakwata Yesu, kyali kiteekwa okutuukirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu;