Acts 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye yagula ennimiro mu mpeera ye ey'obwonoonefu, ne yesulinka ku ttaka, n'ayabikamu wakati, ebyenda bye ne biyiika byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo n'agula ennimiro n'empeera ey'obubi bwe; n'agwa nga yeevuunise, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
(Omusajja oyo Yuda, ensimbi ze yaweebwa olw'ekikolwa kye ekibi, yazigulamu ennimiro mwe yagwa n'afa. Yayabikamu wabiri, ebyenda bye ne biyiika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Oyo n'agula ennimiro n'empeera ey'obubi bwe; n'agwa nga yeevuunise, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika.