Acts 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo ab'omu Yeruzaalemu bonna ne bakimanya, n'ennimiro eyo, mu lulimi lwabwe kwe kuyitibwa Akeridama, kwe kugamba nti ‘Ennimiro y'Omusaayi’.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okuyitibwa n'eyitibwa Akerudama, amakulu nti, Ennimiro ey'omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ab'e Yerusaalemu kino bakimanyi, era mu lulimi lwabwe, kyebava bagiyita Akeludama, ekitegeeza nti: “Ennimiro y'Omusaayi”).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okuyitibwa n'eyitibwa Akerudama, ye nnimiro ey'omusaayi.)