Acts 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okutuusa ku lunaku lwe yatwalirwako mu ggulu, Abatume be yalonda ng'amaze okubawa ebiragiro bye mu Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okutuuka ku lunaku luli lwe yatwalibwa mu ggulu, ng'amaze okuwa ebiragiro abatume be, be yalonda ku bw'Omwoyo Omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutuusiza ddala ku lunaku lwe yatwalirwako mu ggulu. Bwe yali nga tannatwalibwa mu ggulu, yamala kukuutira ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, abatume be, be yalondamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa ku lunaku luli bwe yamala okulagira ku bw'Omwoyo Omutukuvu abatume be yalonda n'atwalibwa mu ggulu.