Acts 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno, mu basajja bano, abaabeeranga naffe ebbanga lyonna Omukama Yezu mw'abeeredde mu ffe ng'ajja ng'agenda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'olw'ekyo omu ku bantu abaayitanga naffe mu kiseera kyonna Mukama waffe Yesu mweyayingiranga era n'avanga gyetuli,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale twetaaga omuntu omu okuba awamu naffe mu kukakasa okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. Omuntu oyo ateekwa okuba omu ku basajja abaayitanga naffe, mu kiseera kyonna Mukama waffe kye yatambulanga naffe, okuva ku lunaku lwe yabatizibwa Yowanne, okutuusiza ddala lwe yatuggyibwako n'atwalibwa mu ggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kigwanye mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna bwe yayingiranga n'avanga gye tuli Mukama waffe Yesu