Acts 1:22 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okuva ku batismu ya Yowanna okutuusa ku lunaku lwe yatuggyibwako n'atwalibwa mu ggulu, omu ku bano ateekwa okuba omujulirwa wamu naffe ow'okuzuukira kwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe.