Acts 1:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne beegayirira, ne bagamba nti: “Ayi Mukama, ggwe amanyi emitima gya bantu bonna, ku abo bombi laga omu gw'olonze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basaba, ne bagamba nti, “Mukama waffe, ggwe amanyi emitima gy'abantu bonna, lagako omu gw'olonze ku bano bombi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basaba Katonda nga bagamba nti: “Ggwe Mukama omanyi ebiri mu mitima gy'abantu bonna. Tulage gw'olonze ku bano ababiri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basaba, ne bagamba nti Ggwe, Mukama waffe, amanyi emitima gy'abantu bonna, lagako omu gw'olonze ku bano bombi,