Acts 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo, ng'amaze okubonaabona, yabeeyoleka mu ngeri nnyingi okubakakasa nga bw'ali omulamu; yabalabikiranga mu nnaku amakumi ana, n'ayogeranga nabo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'abalabikira mu bbanga ery'ennaku ana (40), ng'ayogera nabo eby'obwakabaka bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku amakumi ana ng'amaze okubonyaabonyezebwa era n'okuttibwa, yabalabikira emirundi mingi, mu ngeri ezaabakakasiza ddala nti mulamu. Baamulaba, era n'ayogera nabo ku Bwakabaka bwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'abalabikira ebbanga ly'ennaku amakumi ana, ng'ayogera eby'obwakabaka bwa Katonda.