Acts 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali balya, n'abakuutira obutava mu Yeruzaalemu, wabula balindirire Taata kye yasuubiza, kye yayogerako nti: “Mwawulira mu kamwa kange, nti
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira okuva gy'ali:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe baakuŋŋaana awamu, n'abalagira nti: “Temuva mu Yerusaalemu, wabula mulinde ekirabo Kitange kye yasuubiza, era kye nabagambako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira gy'ali: