Acts 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abaddamu nti: “Si kyammwe okumanya ebbanga n'akadde Taata bye yassaawo n'obuyinza bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Okumanya ebbanga n'ekiseera si kwammwe. Kitange yakuleka mu buyinza bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye.